Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 93 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Obwakabaka bwa Buganda busaaside abantu be Teso

February 14, 2022 · Mubiru Ali
Obwakabaka bwa Buganda busaasidde aba Teso olw’okufiirwa Omukulembeze waabwe ow’ennono Papa Emorimor Iteso, Augustine Osuban Lemukol eyavudde mu bulamu bwensi Ssabbiiti ewedde.
Kulw’obwakabaka bwa Buganda obubaka obwokusaasira busomeddwa Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Oweek Patrick Luwaga Mugumbule mu kitambiro ky’emmisa eky’okusabira omugenzi ekibadde ku kiggwa kyabajulizi e Namugongo.
Katikkiro asinzidde mu bubaka buno naagamba nti omugenzi Osuban ajjukirwa nnyo mu kulwanirira okuzzaawo enkolagana n’obumu mu bantu be Teso ekintu ffenna kyetwenyumirizaamu. Era yalwanirira nnyo okulaba nga obukulembeze bw’ennono bubeera busaale mu nkulaakulana yeggwanga.
Ekitambiro kyemmisa kikulembeddwamu musinyooli Charkes Kasibante nga kwetabiddwako abakulembeze mu bukulembeze bwennono, bannabyabufuzi n’abantu abalala ssekinnoomu.