Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 199 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

obwakabaka bwa buganda bukoze endagaano ne minisitule ya foreign affairs

January 9, 2019 · Mubiru Ali

Obwakabaka bwa Buganda bukoze endagaano ey’enkolagana ne minisitule ya Uganda evunaanyizibwa ku nsonga za Uganda ebweru (foreign affairs) mu kunyweza n’okutumbula enzirukanya y’emirimu mu kitongole ky’obwakabaka eky’abagenyi n’emikolo mu kuyita mu kutendeka n’okubangula abaami b’obwakabaka ku mitendera egy’enjawulo awamu n’abaweereza mu bitongole by’obwakabaka eby’enjawulo.
Ekigendererwa mu kino Kwe kulaba nti obwakabaka bwongera okwetereeza mu nteekateeka y’emikolo gy’obwakabaka ku by’abagenyi awamu n’okukuuma n’okunyweza ekitiibwa kya Namulondo n’obwakabaka mu Uganda n’ebweru wa Uganda.
Endagaano eteereddwako omukono Minisita w’amawulire, Abagenyi, Era Omwogezi w’Obwakabaka,Oweek Noah Kiyimba, ate ku lwa minisitule y’ensonga za Uganda ebweru, omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule eno Amb. Patrick Mugoya yataddeko omukono.