Breaking
News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa News: Omubaka akiikirira Nansana Municipality mu Palamenti Munnakibiina ki National Unity Platform Zambaali Bulasio Mukasa avuddeyo nasaba Gavumenti News: Minisita wAmawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi wObwakabaka, Oweek.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 997 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Obwakabaka buwaddeyo ebirowoozo ku bbago ly’ebyensoma

February 23, 2023 · Mubiru Ali
Obwakabaka buwaddeyo ebirowoozo byabwo mu Kakiiko akakola ku bbago ly’ebyensoma mu Ggwanga akakulirwa Hon. Amanya Mushega. Okusinziira kw’alipoota esomeddwa Ssentebe w’Akakiiko k’ebyenjigiriza mu Bwakabaka, Oweek. Cotilda Nakate Kikomeko, Obwakabaka bulowooza nti ebigezo bya Nnassale tebyetaagisa, so nga omutendera ogwa Pulayimale gusaana okussa essira kw’ebyo omuyizi by’asobola. Ensisinkano eno yabadde ku Bulange e Mengo nga yetabyemu Katikkiro Charles Peter Mayiga n’abakungu abalala.