Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 385 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Obwakabaka buvuddeyo ku ttaka lya Yunivasite y’e Kyambogo

February 19, 2021 · Mubiru Ali
Obwakabaka bufulumizza ekiwandiiko ekirambika obwannannyini ku ttaka lye Kyambogo erikozesebwa Kyambogo University nga bweriri erya Estate ya CMS Kisosonkole.
Mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde ku Bulange enkya ya leero, Omumyuka wa Katikkiro Asooka era Minisita W’Obuyiiya n’enzirukanya y’emirimu, Owek Assoc. Prof. Dr. Twaha Kigongo Kaawaase, agambye nti Obwakabaka buwakanya ebyafulumira mu mawulire nga biraga nti ettaka lino teririnaako bwa nannyini era mbu Kampala District Land Board y’eririnako obuyinza.
Era ategeezezza nti ebyapa byonna ebya Freehold nga mwemuli n’ekyapa kya Kyambogo University ebyakolebwa ku ttaka lya CMS Kisosonkole bikyamu era nga byakusazibwaamu.