Obwakabaka busse omukago ne Rotary okutuusa obujjanjabi n’amazzi ku bantu

Obwakabaka busse omukago ne Rotary okutuusa obujjanjabi n’amazzi ku bantu, okulwanirira obutonde bwensi, Omukago guno gugendereddwamu okussa essira mu kuziyiza endwadde n’okutuusa obujjanjabi mu bantu, okulwanirira obutonde bwensi (mission green), okutuuda amazzi n’eby’obuyonjo mu bantu naddala nga beyambisa enkola ya Bulungibwansi.
 
Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Owek Ahmed Lwasa, yataddeko omukono kulw’obwakabaka, ate Governor wa District 9211 Sharmila Bhatt naateekako kulwa Rotary.
 
Katikkiro agambye nti emirimu Rotary gyekola, gyejo egirumirirwa abantu, naddala mu by’enjigiriza, eby’obulamu, okutumbula embeera z’abavubuka, wamu n’okulwanirira obutonde bwensi nga bayita mu kaweefube w’okusimba emiti.
 
Katikkiro akinogaanyizza nti, nga bayita mu mukago guno, obwakabaka bujja kusimba emiti mu buli kifo balabe nga kiragala asaanikidde obuganda bwonna.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Abantu bafunye obujjanjabi obwobwerere mu lusiisira lw’ebyobulamu e katwe