Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 33 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Obwakabaka buleeta eddwaliro eritambula

July 17, 2017 · Mubiru Ali

Omuwanika mu Bwakabaka bwa Buganda Owek Wagwa Nsibirwa alangiridde nga Obwakabaka bwa Buganda bwebuleeta eddwaliro eritambulira eriyitibwa Mobile Hospital nga libeera ku mmotoka liyambeko okwanguyiza abantu ba Beene eby’obujjanjabi .

Nsibirwa okulangirira kuno akukoledde mu Lukiiko lwa Buganda  e Bulange Mengo olutudde enkya ya leero mwasomedde embalirira y’ Obwakabaka  bwa Buganda eri mu buwundu 74. 

Minisita asinzidde wano era n’ategeeza nga Ssaabasajja Kabaka bweyasiimye  baleete Ambulance y’okumazzi eyambeko abantu be ab’e Ssese mu byobulamu