Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 205 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Obwakabaka bukungubagidde Oweek Arthur Bagunywa.

May 13, 2019 · Mubiru Ali

Obuganda bukungubagidde omugenzi Oweek Arthur Bagunywa mu kusaba okubadde mu Lutikko e Namirembe.

Maama Nnabagereka, Namasole, Ssaabaganzi, Abalangira n’abambejja, Baminisita ba Kabaka, Omukubiriza w’olukiiko lwa Patrick Luwagga Mugumbule, ba Katikkiro abaawummula, Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda eyawummula, Owek Nelson Kawalya, ne Baminisita abaawummula beetebye mu kusaba kuno.

Obubaka bwa Kabaka busomeddwa omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’eby’emirimu ne tekinologiya Prof. Twaha Kigongo Kaawaase. Ssaabasajja asiimye Owek Arthur Bagunywa olw’okutumbula olulimi oluganda n’okuweereza obwakabaka bwe.
Obubaka bwa Katikkiro busomeddwa omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era Minisita w’eby’ensimbi mu bwakabaka Oweek Robert Waggwa Nsibirwa. Katikkiro yeebazizza nnyo Owek Bagunywa olw’okumuwabulanga ku nsonga z’olulimi oluganda wamu ne mu nsonga z’obwakabaka ez’enjawulo.

Oweek Arthur Bagunywa yaliko Minisita wa Kabaka, Omubaka wa parliament akiikirira Mityana South, yaweerezaako mu kitongole Kya UNESCO, abadde munna Rotary, era yeyatandikawo ekibiina kya Uganda Land Owners Association.