🎵 Obwakabaka bukungubagidde munnabitone Moses Matovu, eyavudde mu bulamu bw’Ensi enkya ya leero.
Abakungubazi bakedde Kibuli ku muzikiti okusabira omugenzi Moses Matovu n’okwebaza omutonzi ebirungi bya musobozesezza okukola emyaka gy’amaze ku nsi.
Obwakabaka bukiikiriddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, era mu bubaka bwe atangaazizza ku munnabitone omutuufu bwalina okweyisa okufaananako Moses Matovu bw’abadde. Agamba munnabitone alina okwetegekera omulimu gwe nga yegezaamu era nga agwemalirako, n’Abantu ba bulijjo basaanye okutwala enkola eyo. N’olwekyo Moses Matovu abadde yemalira nnyo mu kufuuwa omulere era y’abadde asinga okugufuuwa mu Uganda.
Atenderezza Moses Matovu olw’okwolesa obukugu mu mulimo gwe, nga bwaba ayitiddwa okuyimba ku mukolo atuuka mu budde, yetegeka, teyebuzaabuza.
Jjajja w’obuyisiraamu Omulangira Kassim Nakibinge, asabye Poliisi ekole okunoonyereza mu bwangu ekangavvule abakoze ettemu ku munnabitone ono.
Omulangira Nakibinge era asabye ebitongole bye by’okwerinda okunoonya obubi

