Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Obwakabaka bugabye endokwa z’emiti eri Abaami b’amasaza erya Busiro ne Mawokota

#Okukuuma Obutondebwensi: Obwakabaka bugabye endokwa z’emiti eri Abaami b’amasaza erya Busiro ne Mawokota.

Minisita w’Ettaka, obulimi n’Obutondebwensi, Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo yakulembeddemu omulimu gw’okusimba emiti gino mu magombolola ag’enjawulo okuli; Ssaabawaali Buwaya (Busiro) ne Muduuma (Mawokota).
Andrew Benon Kibuuka yakiikiridde Ssebwana, ate Kayima Gabriel Kabonge yabaddewo kulwa Mawokota.

Owek Mariam asinzidde wano naakubiriza abantu ba Buganda okusimba emiti mu bifo ebyenjawulo okusobola okukuuma Obutondebwensi obudobonkanye ensangi zino.

Obwakabaka bwata omukago n’ekitongole kya Community Integrated Development Initiative okusimba emiti mu Buganda. Ku mukolo guno ekitongole kino kikiikiriddwa David Katende omukwanaganya w’emirimu ng’ono awaddeyo emiti lukumi (1000) egisimbiddwa olwa leero.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort