Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 313 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Obwakabaka bufulumizza enteekateeka y’okukuza olunaku lw’eby’obulamu e Bugerere.

July 4, 2019 · Mubiru Ali

Nga 10 – July – 2019 Ssaabasajja Kabaka ajja kulambula ensiisira z’eby’obulamu nga wakusookera ku mwalo e Kawongo mu gombolola ye Galiraya. Eno Ssaabasajja wakusomesa ku nsonga za mukenenya.

Bwava e Kawongo Beene wakwolekera mu gombolola ye Kitimbwa asomese abantube ku nsonga z’okugema n’okulwanyisa endwadde ez’enjawulo.

Entikko y’emikolo yakubeerawo enkeera nga 11th ku ssomero lya St. Mark P/S e Busaana.

Bwabadde ayanjula enteekateeka eno, Minisita w’enteekateeka n’Enkulaakulana y’abantu, eby’enjigiriza, n’eby’obulamu, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, agambye nti Ssaabasajja ayagala abantube babeere balamu era ensiisira z’eby’obulamu zigendereddwamu okusomesa n’okutegeeza abantu engeri gyebalina okugemesa n’okwerinda endwadde ez’enjawulo.

Omulamwa gw’omwaka guno guli; ” ABAAMI TUBEERE EMUNYEENYE MU KULEETAWO OBULAMU OBULUNGI”.