Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 324 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Obwakabaka bwa Buganda busomye embalirira ya buwumbi 74

July 17, 2017 · Mubiru Ali

Minisita avunaanyizibwa ku byenfuna mu Bwakabaka bwa Buganda Owek. Wagwa Nsibirwa enkya ya leero asomye embalirira y’ Obwakakaba ey’omwaka gw’ebyensimbi 2017 / 2018 nga egenda kumalawo obuwumbi 74 mu obukadde 713.

Owek. asinzidde mu Lukiiko lwa Buganda e Bulange Mengo, mu mbalirira eno n’alaga n’engeri ensimbi zino gyezigenda okukufunibwamu okuva mu bintu eby’enjawulo omuli envujjo, ebitongole by’obwakabaka eby’amawulire nga K2, Radio ne Terefaayina,  abayizi mu matendekero g’obwakaba,  bannamikago n’amakuko amalala mangi.

Ayongedde n’alaga n’ebimu ku bintu ebikulu ebigenda okussibwako omulaka omuli okugula eddwaliro eritambula (Mobile Hospital),  Ambulance yooku mazzi , okuzimba ekizimbe gaggadde mu Ssettendekero wa Mutesa 1 Royal University,  okugaba endokwa z’emmwaanyi obukadde mukaaga, okugaba endu  n’ebirala bingi.