BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Obulwadde bw’olukusense bubaluseewo e Kamuli ne Kamwenge

Minisitule evunaanyizibwa ku by’obulamu erangiridde erangiridde nti wabaluseewo obulwadde bw’olukusense mu Disitulikiti y’e Kamuli ne Kamwenge.

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa Minisitule eno ekya ya leero kyoleka nga ekirwadde ky’olukusense kikasiddwa nti ekirwadde kino kirabiseeko mu Disitulikiti y’e Kamwenge mu bugwa  njuba ne Kamuli mu buva njuba era nga obulwadde buno buzuuliddwa mu baana abali wakati w’emyaka 5 ne 14 mu magombolola omuli; Butandise, Nawanago, Balawoli, Nabwigulu ne  mu Municipali y’e Kamuli.

Okubalukawo kw’obulwadde buno e Kamwenge kwogerwako nti kyaliba nga kivudde ku banoonyi b’obubudamo abeeyiye mu ggwanga lyattu Yuganda okuva mu Democratic Republic eya Congo n’ebidiini oby’obwewussa ebirobera abantu okugenda mu malwaliro okufuna obujjanjabi .

Olukusese lusinga kukosa bitundi eby’okussa n’okuleeta omusujja ogwamaanyi wamu n’okusesema era ky’ekimu ku bisinga okutta abaana abato abali eyo mu 114900 mu nsi yonna okusinziira ku bibalo by’ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu .

Abatwala Minisitule bagamba nti basitukiddemu nga eyatega ogw’ekyayi okutangira ekirwadde kino okweyongera era nebasaba abantu okutegeeza abavunaanyizibwa ku by’obulamu amangu ddala  nga  balabye embeera eno .

 

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply