Breaking
News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 526 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Obulamu bwa Mpaga butuyigiriza bingi – Katikkiro

November 22, 2023 · Mubiru Ali
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Obulamu bw’Owek Joyce Mpanga butuyigiriza bino: Abazadde bazuule ebitone by’abaana ate babayambe okubikuza oba bawala, oba balenzi; Abaana bonna baweebwe omukisa okusoma, nga bakadde b’omugenzi bwe baakola; ate n’abafumbo bawagiragane, nga bba w’omugenzi we yamuwagira.
Owek Mpanga y’omu ku bayitimusizza emikisa gy’abakazi ng’akikoze awatali bwannalukalala. Yali ku lusegere lwa Ssekabaka Edward Muteesa, era ne Kabaka Mutebi II yamuwa Ekitiibwa ky’Amafumu n’Engabo. Afudde Mukiise wa Lukiiko omujjumbize.
Nsaasidde nnyo abamweyunzeeko, era tusaba Mukama amuwummuze mirembe.”