Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 118 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Obukiiko bw’ebyalo bwetaagibwa bunnambiro – Kayihura

September 28, 2016 · Mubiru Ali

Ssaabaduumizi wa Police General Kale Kayihura asabye Gavumenti okufuba okulaba nga eteekateeka okulonda obukiiko bwa ba Ssentebe b’ebyalo nga omu ku kaweefube ow’okwongera okunyweza eby’okwerinda mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo .ย 

Ekisanja ky’abantu bano kyaggwako emyaka kkumi emabega naye nga Gavumenti yeesuuliddeyo gwa nnaggamba okuteekateeka okulonda okuggya nga yeekwasa nga bwewatali nsimbi .

Wabula General Kayihura agamba nti obukiiko bw’ebyalo bwakolanga omulimu munene nnyo okwongera okunyweza eby’okwerinda yensonga lwaki bwetaagibwa bunnambiro .

Bino Ssaabaduumizi wa Police abituuseeko bw’abadde ng’ayogerako n’abatuuze b’e Kabowa ekisangibwa mu Municipaali ey’e Rubaga, bw’abadde atongoza enteekateeka eyitiddwa Neighbourhood Watch nga balonze obukiiko bw’ebyalo okwongera okunyweza eby’okwerinda ne baweebwa n’ekitundu mwebagenda okukakkalabiza .