Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 181 listening Simba FM Live

Obukama bwa Tooro busabye LOP okutunula mu kiteeso ky’Amawanga ga Bulaaya

October 16, 2022 · Mubiru Ali
Obukama bwa Bunyoro bwavuddeyo nebusaba oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti, okwongera okwekenneenya ekiteeso ky’olukiiko olutaba amawanga ga Bulaaya eky’okuyimiriza okuzimba omudumu gw’amafuta okumala omwaka.
Bino babyogeredde ku bugenyi akulira oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Mathias Mpuuga Nsamba ne kabineeti ye bwaliko mu Bunyoro okufuna endowooza za Banyoro ku mulamwa gw’oludda oluwabula Gavumenti ogw’okubaga amateeka mu Ggwanga agagasizza ffenna awamu.