Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 450 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Obukadde 400 e z’abavubuka zisattiza abakulembeze e Mubende

August 29, 2016 · Mubiru Ali

Ssente z’abavubuka obukadde 400 ezaabaweebwa okwerwanako ku lukokere lw’obwavu mu Disitulikiti y’e Mubende zibasattiza oluvannyuma lw’okubalemerera okusasula ng’enteekateeka bweyali.

Ssentebe w’abavubuka mu Disitulikiti y’e Mubende naddala ab’ekibiina ekya Mubende Youth Forum,  Hakim Kintu agamba nti abantu abaafuna ensimbi zino baaweebwa obukadde 400 wabula baakakomyawo obukadde 25 zokka.

Kintu agamba nti ekiviiriddeko kino be bantu okulowooza nti Gavumenti bwewaayo ensimbi zino ebanga ebasasudde oba okubeebaza olw’okugiwa akalulu olwo ne beesuulirayo gwa nnaggamba bwekituuka okusasula wabula eby’embi kwekubeera nti mu kiseera kino baalibadde bafuna ensimbi endala ez’okwekulaakulanya naye tebayinza kuzifuna nga n’ezasooka okubawebwa zaabalema okuzzaayo.

Wano kintu waasinizide n’asaba abakulembeze okufunira abavubuka bano woofiisi webanaasinziira okutalaaga mu bannaabwe abalina ensimbi zino.