Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 156 listening Simba FM Live
News

Obukadde 350 obuweebwa Pulezidenti nti bwangoye zaaki ddala-Babaka

May 18, 2023 · Mubiru Ali
Waliwo Ababaka ba Palamenti abavuddeyo nebazuula ensimbi obuwumbi 454 zebalowooza nti zino zonoonebwa bwonoonebwa nga zisaasanyizibwa ku Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni. Bano banokoddeyo ensimbi obukadde 350 eziweebwa Pulezidenti nti zangoye kyebagamba nti kuno kuba kwonoona nsimbi yamuwi wa musolo nga kiba kitegeeza nti Pulezidenti asaasanya ensimbi akakadde 1 buli lunaku ku ngoye.
Mu alipoota eyabatono eyaboludda oluwabula Gavumenti bano bagamba nti Pulezidenti si muzannyi wa firimu mu Hollywood nti yetaaga okugula engoye empya buli lunaku kuba akulembera Egggwanga erijuddemu abankuseere.
Bano bebuuza lwaki abeera alina okugula engoye zabukadde 350 buli mwaka. Bano bebuuza ekyatuuka ku ngoye zonna zebamugulira omwaka oguwedde!
Bano era bebuuzizza ku nsimbi obukadde 600 eziweebwa State House buli mwaka okugula ebibajje ngensimbi zino zezimu ezabaweebwa omwaka gwebyensimbi oguwedde.
#PlenaryUg