Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 182 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Obuganda butenderezza emirimu gya Omumbejja Muggale

September 13, 2017 · Mubiru Ali

Namungi w’omuntu omuli abooluganda, abako n’abemikwano gy’omumbejja Beatrice Juliana Muggale eyaseerera ku lwokutaano lwa ssabbiiti ewedde,  enkya ya leero bakungaanidde ku Lutikko e Namirembe okusabira omwoyo gwe .

Omumbejja Muggale muwala wa Ssekabaka Daudi Chwa azaala Ssekabaka Muteesa II so nga Muteesa II y’azaala Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, ekyo nno nekitegeeza nti omugenzi abadde Ssenga wa Kabaka Mutebi.

Mu bubaka bwa Ssaabasajja Kabaka Muwenda Mutebi II obusomeddwa Nnaalinya Dinah Kigga, Omuteregga ayogedde ku Mumbejja nga omuntu eyagatta  ennyo abantu b’obwakabaka ate n’okubuwabula mu bintu ebitali bimu.

Ate ye Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde ku mukolo gwegumu n’atendereza obuweereza bw’omumbejja era n’agamba nti ono ekiseera kyonna abadde ku lusegere lwa Ssaabasajja Kabaka Magulunnyondo .