Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 226 listening Simba FM Live

Obuganda busabidde Ssaabasajja Kabaka okumukulisa okuweza emyaka 27 ng’Alamula Obuganda.

July 26, 2020 · Mubiru Ali

#Amatikkira27: Obuganda busabidde Ssaabasajja Kabaka okumukulisa okuweza emyaka 27 ng’Alamula Obuganda.

Okusaba okwenjawulo kubadde Namirembe mu Maka ga Ssaabalabirizi Dr. Stephen Kazimba Mugalu ate ne mu lutikko e Lubaga. Rev. Fr. Dr. Pius Male Ssentubwe chancellor we Lubaga yakulembeddemu okusaba.

Mu kusaba kuno Obwakabaka bukiikiriddwa Baminisita ba Kabaka, Oweek David Kyewalabye Male yabadde e Namirembe, ate Oweek Noah Kiyimba e Lubaga nga bano bebasomye obubaka bw’Obwakabaka obuteereddwako omukono gwa Katikkiro.

Bannaddiini basinzidde wano nebeebaza omutonzi olw’obulamu n’amagezi byawadde Omutanda ebimusobozesezza okutuuka ku buwanguzi mu byonna.