Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 330 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Obubbi mu ddwaliro ly’e Kisoro bukutte wansi ne waggulu

June 5, 2017 · Mubiru Ali

Obubbi bukudde ejjembe mu ddwaliro ery’ e Kisoro mu bukiika ddyo bwa Yuganda nga kaakati ab’obuyinza mu Disitulikiti eno beeraliikirivu lw’ebintu ebibbibwa buli olukedde .

Kumpi emirundi ena egy’obubbi gyegyakategeezebwa Police okuva omwaka guno lwegwatandika.

Dr. Micheal Baganiizi nga ono ye Director avunaanyizibwa ku ddwaliro lino ery’e Kisoro , agamba nti ababbi bano balumba yafeesi nebanyagamu ebintu ebyomuwendo oluvannyuma nebakuuliita nabyo . Era ebivaayo biraga nti n’obubbi obwakasebayo, bwaliwo nga ennaku z’omwezi 28 Mugulansigo omwaka guno era wano ababbi bakuuliita n’ebyuma ebya Clinic ekola ku balwadde ba mukenenya.

Wabula ye Charles Okoto nga ye DPC wa Disitulikiti y’e Kisoro agamba nti kaakati waakusitukiramu ngeyatega ogw’ecaayi ayungule ku bawanvu n’abampi bataase embeera eno etawoomya nakabululu.