Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 272 listening Simba FM Live

Obubbi bwa ‘Meter’ z’amazzi bweyongedde

June 4, 2018 · Mubiru Ali

Abatuuze mu bitundu by’e Jinja kati basula kutebuukye olw’obubbi bwa ‘meter’ z’amazzi obweyongedde mu kitundu ekyo.

Bagamba nti ababbi bazibbira wakati w’essaawa omwenda n’ekkumi ez’ekiro ng’abatuuze bebase. Sameul Apedel nga ono yakwanaganya ekitongole kya National Water and Sewerage Corporation yakakasizza ensonga eno nga mumwezi ogw’okusatu ‘meter’ 22 zezabibwa ate mu gw’okutaano ‘meter’ 17 zezabibwa.

Mubiseera ebiyise ‘meter’ ezabibwanga kirowoozebwa mbu zaakolwangamu ebinusu bya shs 500. Ekitongole kyasalawo okuleeta ebika ebipya ebya ‘meter’ nga tebiriimu kirungo kya ‘brass’