Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 331 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Nze saagala byabufuzi munveeko – Gen. Kayihura

October 10, 2023 · Mubiru Ali
Eyaliko omuduumizi wa Uganda Police Force Rt. Gen. Kale Kayihura avuddeyo neyesammula ebigambibwa nti ateekateeka kwesogga by’abufuzi avuganye ku kifo ky’omubaka akiikira Bufumbira East mu Palamenti.
Kayihura agamba nti ezo ngambo ezitaliiko mutwe namagulu kuba nti ye ng’omuntu atya eby’obufuzi era tayinza kwesimbawo wadde kubwa Ssentebe bw’ekyalo nga amaanyi agenda kugateeka mu kulunda.
Ono era agamba nti yewuunya abantu abavaayo nebategeeza nga Kkooti y’amaggye bweyamusonyiwa emisango nagamba nti ebyo byappa, Kkooti yakizuula nti teyalina musango gwonna era neyebaza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olw’obutagoberera ngambo na bulimba wabula n’akola okunoonyereza okutuusa lweyazuula amazima.