Breaking
News: Eddogo mu bayimbi terigambika. Abegabya collabo tojja owedde. Amasaba gali e Makindye gasinga studio News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon.
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 550 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Nwagi twamugoba lwakwambala bubi ngajja ku Minisitule – Mundeyi

August 8, 2022 · Mubiru Ali
Omwogezi w’ekitongole ekikola ku ppaasippooti mu Minisitule evunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Ggwanga Simon Peter Mundeyi avuddeyo kubyatuukawo wiiki ewedde omuyimbi Winnie Nwagi bweyagobwa ku kitebe kya Minisitule.
Mundeyi agamba nti ennyambala y’omuyimbi Nwagi yali yesitaza nga tekirizibwa ku kitbe ekyo kuba abantu bangi abagendawo omuli Bannaddiini, abakulembeze ab’enjawulo, Baminisita, abazadde abajja n’abaana baabwe n’abalala.
Ono agamba nti bamusaba mu mirembe addeyo ayambale bulungi nti wabula Nwagi yawereekereza abasirikale ebigambo ebinene ebitayisika mu kamwa, neyewuunya omuntu ngoyo so nga muzadde ate aweebwa n’ekitiibwa mu Ggwanga. Ono akubirizza abayimbi okugenda ku Minisitule eno nga bambadde bulungi okwewala okugobebwa.