Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 242 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

NUP eduukiridde abafiiriddwa abantu baabwe e Kasenyi

August 4, 2023 · Mubiru Ali
Olunaku olwaleero Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya akyaddeko ku mwalo gw’e Kasenyi okukungubagira awamu n’abantu abafiiriddwa abaabwe abasoba mu 20 abagwa mu nnyanja Nalubaale oluvannyuma lw’e Kinaala ekyali kiva Lwanabatya ne Ntuuwa mu Disitulikiti y’e Kalangala nga kyolekera Katabi okubbira oluvannyuma lw’amayengo agamaanyi okukikuba.
Mu mirambo egitanalabika kuliko Maama wa Munnakibiina kya NUP Councillor Namwanje Jamira Kalyango, n’omukunzi omukulu owa Disitulikiti y’e Kyankwanzi, Hillary Kyagulanyi naye yafiiriddwa muwala w’e ow’emyaka 18 wabula nga ggwo omulambo gwazuuliddwa.
NUP ebaduukiridde n’emmere wamu n’obuyambi bw’ensimbi enkalu eri abafiiriddwa abaabwe.