Breaking
News: Olutindo-Nsamba-Okufa kwa Oyo kwanise obubbi nokweyagaliza mu bantu Gavumenti erina omukono mubuvuyo News: Omusuuga Charles Kayondo Kamurasi, 80 Ffe Abatooro ekirabo Omukama Katonda kyetatuwa, bwetusalawo tuba tusazeewo tetukyuusa, ekyo ne Pulezidenti News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ekyatinta buli lunaku ku nnya ezekiro okuva ku Bbalaza okutuuka ku Lwokutaano.
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 370 listening Simba FM Live
News

NUP bagiremesezza okusuula Baagala ne Bwanika

June 19, 2024 · Mubiru Ali
Akulira Oludda oluwabula Gavumenti Joel Ssenyonyi (National Unity Platform) avuddeyo nalaga obutali bumativu bwe oluvannyuma lwa Palamenti okulemesa ekiteeso kyabwe ekyokukyuusa Omubaka AbedBwanika ne Hon. Joyce Bagala Ntwatwa ku bifo byebabaddeko ku Kakiiko ka Palamenti aka Government Assurances and Implementation Committee. Jeol ategeezezza nti kino kyeyoleka lwatu nti kati bano bataatirwa kibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement – NRM.
Okwogera bino kiddiridde Nampala w’oludda oluvuganya Gavumenti John Baptist Nambeshe okuleeta ekiteeso ekikyuusa bano nga bagamba nti bebulankanya mu ntuula za Kakiiko wabula Sipiika Among nakiremesa wabula kyo ekibiina kya NRM nekikirizibwa okukyuusa abaakyo.