Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 323 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Nsazeewo okulekulira Police nsigaze erinnya lyange lyenkoleredde ebbanga – Kirumira

January 31, 2018 · Mubiru Ali

Abadde Aduumira Police mu Disitulikiti y'e Buyende,  Muhammad Kirumira alangiridde nga bw'annyuse emirimu gye mu kitongole kya Police. 

Mu bubaka bw'atadde ku mukutu gwe ogwa Watsupp,  Kirumira ategeezezza nti annyuse emirimu gino oluvannyuma lw'okukitegeera nti erinnya lye teriritereera n'omulundi n'ogumu mu maaso ga bakama be. 

Alangiridde oluvannyuma lwa Olukiiko oluddukanya Police okumutwala mu kakiiko akakwasisa empisa mu Police nga alangibwa okuba nga aliko emisango gyeyazza bweyali ng'akyali ku Police y'e Nansana ne Kampala mukadde. Avunaanibwa emisango egy'okutulugunya abantu, okuggya ensimbi ku bantu,  okwenyigira mu buli bw'enguzi awamu n'okugombamu obwala mu ngeri emenya amateeka, wabula gino gyonna emisango egyegaanye n'agamba nti bano matu ga mbuzi agamusibwako okumuliisa engo.