Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 388 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

NRM kyekibiina ekisinga obuganzi – SG Todwong

December 22, 2021 · Mubiru Ali
Ssaabawandiisi wa National Resistance Movement – NRM, Richard Todwong avuddeyo nategeeza nga ekibiina kya NRM bwekisinga obuganzi ebibiina byonna mu Ggwanga Yuganda. Ono agamba nti abo abalowooza nti si kyekisinga obuganzi basaanye bakimanye nti ku buli kyalo, Muluka ne Gombolola balinako abakulembeze 30. Agamba nti bano baba bamala bumazi, kuba babakungabukunzi nga kyekola. Ayongerako nti ate bwebawangula ababavuganya bewuunya nnyo.
Todwog agamba nti aba National Unity Platform NUP bweboogerako nti babbye e Kayunga byabwewussa kuba ekibiina ekisinga obuganzi tekisobola kwenyigira mukubba bululu.
Ayongerako nti baleme kulowooza nti NRM bwesirika bwebunafu bwayo, kuba oli bwakukasukira ebisooto tobyegyako nga tebinakala, nti bakimanyi bulungi emboozi ze Kayunga zitandise okukala essaawa yonna bajja kwejjako ebyo ebikaze. Ono agamba nti tewali ayinza kubatiisatiisa kuba balina obuwagizi bw’abantu, era teri asobola kuzannyira ku Gavumenti ya NRM.