Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 301 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

NRM ekendedde amaanyi e Kayunga – MP Lugoloobi

November 6, 2017 · Mubiru Ali

 

Omubaka mu Palamenti owa Ntenjeru ey'amambuka , Amos Lugoloobi agamba nti ekibiina kya NRM kikendedde nnyo amaanyi mu bitundu by'e Kayunga olw'esngonga nti ekibiina kiremereddwa okugonjoola endooliito eziri mu kibiina e Kayunga .

Bw'abadde mu kafubo ne Luboggola Simba, Lugoloobi atutegeezezza nti akoze kyonna ekisoboka okutegeeza ekitebe kya NRM ku ndoolito zino naye mpaawo kikoleddwa era akottokedde busa!

Nabwekityo n'ategeeza nti Pulezidenti Museveni kimugwanidde okuyingira mu butakkaanya buno nga bw'atakikola akalulu mu Kayunga akasiibule ate n'okuwagira eky'okuggya ekkomo ku myaka.