NORMAN MUSINGA ATWALIDDWA KISORO

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omuduumizi wa Uganda Police Force IGP Martin Okoth Ochola yakoze enkyuukakyuuka mu Poliisi ku lwomukaaga nga abadde aduumira Poliisi y’ebidduka mu Kampala Metropolitan Police (KMP) Norman Musinga yakyuusiddwa nafuulibwa Regional Police Commander Rwenzori nasikizibwa Kahuma Nsereko. Musinga abadde muduumizi wa Poliisi y’ebidduka mu KMP okuva mu 2015.
Ben Mubangizi ye KMP Deputy Commander, nga asikidde Deo Ogula. Mubangizi, nga ali kuddaala lya Assistant Commissioner of Police, yabadde akulira ebyokwerinda bya Offisi yeyali Ssaabaminisita Ruhakana Rugunda.
Eyali akulira Parliamentary Police Henry Kintu asindikiddwa mu Disitulikiti y’e Kisoro nga District Police Commander nasikizbwa Stephen Agaba.
Moses Mutabingwa, head of alert squad ekiri wansi wa Directorate of Traffic, asindikiddwa e Mbale nga Regional Traffic Officer nasikizibwa Anthony Nkesiga.
Rogers Seguya, Wakiso Division Police Commander, yafuuliddwa Deputy Regional Police Commander South.
Faridah Nampiima yalondeddwa ng’omwogezi w’ekitongole kya Poliisi y’ebidduka.
Share.

Leave A Reply