Breaking
News: Mu lutuula lwa Palamenti olwaleero Omubaka Omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Okwewandiisa mu Ngule kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Abasawo be Masaka abaali bakwatibwa ku biragiro bya Minisita wa Gavumenti ezebitundu Hon.
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 469 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Norbert Mao yegaanye ekyokuteesa ne NRM okuleeta omuntu omu mu 2026

January 11, 2024 · Mubiru Ali
Ssekaggale wa Democratic Party Uganda era nga ye Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’amateeka n’essiga eddamuzi Norbert Mao atabukidde olupapula lwa New Vision olwakubye omutwe ogugamba nti DP ne National Resistance Movement – NRM bali munteeseganya okusimbawo omuntu omu ku kifo kya Pulezidenti mu Kalulu ka 2026, Mao agamba nti bino tanabyogerako era nabasaba batereeze ensobi gyebakoze.
Ye agamba nti mu bigambo bye yategeezezza nga NRM ne DP bwebagenda okutuula bekkaanye endagaano gyebakola eyokukolera awamu okulaba oba nga waliwo kyebatuuseeko oba nga betaaga okulongoosaamu mwebyo byebateesaako.
Mao agamba nti ba Ssaabawandiisi okuli owa DP nowa NRM bakusisinkana batunule mu ndagaano eyakolebwa okulaba oba nga ebyakiriziganyizibwako bituukiriziddwa oba nedda.