Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 541 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Nnabagereka Development Foundation esse omukago n’ekitongole kya World Vision okukomya okutulugunya abaana

September 4, 2019 · Mubiru Ali

Obwakabaka nga buyita mu kitongole kya Nnabagereka Development Foundation busse omukago n’ekitongole kya World Vision okukomya okutulugunya abaana.

Minisita w’amawulire, Cabinet, Lukiiko, Abagenyi era Omwogezi w’Obwakabaka, Noah Kiyimba yataddeko omukono kulw’obwakabaka ate Jeremiah Nyagah nassaako kulwa World Vision.

Owek Kiyimba agambye nti okugunjula omwana tekitegeeza mutulugunya kubanga ebikolwa eby’ekko ebimukolebwako mu buto, akula nabyo ekimuviirako okubikola abalala. Agasseeko nti, okubeera n’eggwanga eritebenkedde obulungi, tuteekeddwa okulaba nti abaana bakula bulungi nga tebatulugunyiziddwa, nga bawabulwa bwebaba basobezza.

Mu kusooka Nnabagereka yasoose kusisinkana abakungu ba World Vision mu woofiisi ye nebabaako byeboogera.