Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 443 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Nnabagereka asisinkanye Ana Maria okuva mu un

January 30, 2019 · Mubiru Ali

Nnabagereka Sylvia Nagginda asisinkanye Mukyala Ana Maria Menendez, okuva mu kibiina ky’amawanga amagatte, nga ye United Nations Under Secretary General for Prevention.
Bakubaganyizza ebirowoozo ku ngeri ekibiina ky’amawanga amagatte gyekiyinza okukwataganamu n’ebibiina ebirwanirira okutumbula embeera z’abantu naddala abaana n’abakyala kibasobozese okuleetawo enkyuukakyuuka mu bantu.

Okusinziira ku Menendez, Nnabagereka yoomu ku bantu wano mu Uganda abavuddeyo okulwanirira ekitiibwa ky’omukyala n’omwana ng’ayita mu nteekateeka y’ekisaakaate, mwayita okugunjula abaana okuba n’obuntubulamu, empisa, obuwangwa, n’ennono.