Breaking
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 348 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

nnabagereka asiimye abakyala abavuddeyo okulwanirira ekitiibwa ky’omukyala

March 10, 2019 · Mubiru Ali

Ebyabadde ku kijjulo kya “Women In Rotary” ku Serena Hotel akawungeezi k’eggulo.

Nnabagereka yabadde omugenyi omukulu era akwasizza ebirabo abakyala abawanguzi mu biti eby’enjawulo, nga bano basobodde okuvaayo nebalwanirira ekitiibwa ky’omukyala wamu n’okugunjaawo ebibiina ebitakabanira eddembe ly’omukyala.

Nnabagereka ategeezezza nti ennaku zino abakyala bangi beesowoddeyo nebakola emirimu egy’enkulaakulana egikyuusizza embeera zaabwe.

Nnabagereka asabye banna Rotary okufaayo ennyo okugunjula n’okubangula abavubuka kubanga by’ebiseera bya Uganda mu maaso.

Katikkiro yeebazizza abakyala olw’obuvumu bwebayolesezza mu kulwanirira eddembe lyabwe.

Minisita w’abakyala n’ekikula ky’abantu, Dr. Prosperous Nankindu, naye asanyukidde eky’abakyala abeegattira mu kibiina kya Rotary okubeera abasaale mu kutumbula embeera z’abakyala.