Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 445 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Nkumi na nkumi ezaabakkiriza bajaguza amazuukira ga Yesu Kulisitu.

March 27, 2016 · Mubiru Ali

FB_IMG_1459148125480

Nkumi na nkumi ezaabakkiriza okwotoloola ensi yonna zeeyiye mu masinzizo okujjukira amazuukira ga Yesu Kulisitu 

Amasinzizo gakedde kubooga okwotoloola ensi yonna ng’abakkiriza abakristu bajaguza amazuukira g’omwana wa Katonda Yesu Kulisitu ng’agenda mu Ggulu.

Abakulira enzikiriza bakedde ku bituuti era nga obubaka bubadde kukusaba abakkiriza okukuuma emirembe ate n’okuzuukira ne Yesu mu bikolwa.

Mu Kibuga Vatican emisa enkulu ekulembeddwamu omutukuvu Pope Francis mu kibangirizi kya St. Peters mu by’okwerinda eby’ekika ekya waggulu. Omutukuvu Pope mu bubaka bwe agamba nti abakkiriza beewale ekizikiza, ekizikiza kibabeere wala, Kulisitu azuukirire mu bo.

Wabula obubaka bwe buddiridde bweyawa ku lwokutaano mu kutambuza ekkubo ly’omusaalaba, Omutukuvu yavumirira ebikolwa by’obulumbaganyi ebyakolebwa ku kibuga Brussels ekya Bubirigi omwafiira abantu abawerako.

Abaagaalizza amazuukira amalungi.