Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 80 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Nkobazambogo ekyusizza obukulembeze – Mengo

November 3, 2016 · Mubiru Ali

Abavubuka ba Nkobazambogo bakyusizza obukulembeze bwokuntikko okuva ku Matovu Isaac ng’ ono muyizi mu ttendekero lya Datamine Technical Business School abadde Ssentebe wa ba Ssentebe, nebudda eri Ssempa Mathew Mbajjo nga ono muyizi mu Makerere Yunivasite eyaggaddwa wakati mu ssaabiiti eno.ย 

Ssempa Mathew yalondebwa abavubuka ba Nkobazambogo gyebuvuddeko oluvannyuma lw’ekisanja ky’abakulembeze ababaddeko okuggwako .

Ng’ayogerako eri abavubuka bano ku mikolo egiyindidde ku Bulange e Mengo, Katikkiro Charles Peter Mayiga akalaatidde abavubuka okwagala obuwangwa bwabwe wamu n’okuweereza obulungi mu bwesimbu.

Ye Ssentebe alayiziddwa, Ssempa Mathew asabye obumu n’okwongera okutumbula abavubuka mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.