Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 219 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

nkitadde 2021 sidda – Mbwatekamwa

January 2, 2019 · Mubiru Ali

Omubaka akiikirira Kasambya mu lukiiko olukulu olw’eggwanga Mbwatekamwa Gaffa avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kuddamu kwesimbawo mu kifo kino okukiikirira abantu be Kasambya mu 2021.
Ono agamba nti yasaba abantu b’ekitundu kyakiikirira okumuwa ekisanja kimu (Emyaka 5) abakiikirire era y’ensonga lwaki yawakanya ekyokwongezaayo ekisanja.
Era agamba awaliriziddwa okulekawo ekifo kino kuba akirabye nga Gavumenti tewa kitiibwa biteeso bya Palamenti oluusi n’ebyo ebiba bisaliddwawo era nga simwetegefu kugenda nankola eyo.
Gafa y’omu ku babaka ba NRM abawakanya eky’okukwata ku kawayiro ka ssemateeka 102 B.