Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 237 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Nkiikiridde LOP mukuggulawo omusomo – Hon. Mathias Mpuuga Nsamba

February 22, 2024 · Mubiru Ali

Omumyuuka w’omukulembeze wa National Unity Platform – NUP owamasekkati Owek. Mathias Mpuuga Nsamba; “Nkiikiridde akulira Oludda oluwabula Gavumenti Hon. Joel Ssenyonyi mukuggulawo workshop eyenaku 2 ey’Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko ka Government Assurances and Implementation, akamu ku bukiiko bwembalirira obukulirwa oludda oluwabula Gavumenti. Kano kakubirizibwa Hon. Abed Bwanika ngamyuukibwa Hon. Joyce Bagala Ntwatwa.
Ebbanga lyonna ekibiina ekiri mu buyinza kibadde kikola ebisuubizo byekiremererwa okutuukiriza nga kino kinnyonyola lwaki Ababaka ba NRM batono nnyo abalondoola obuweereza eri abantu nga Babaka baludda luvuganya bebesowolayo ennyo okubanja obuweereza.
Bino byebikola Akakiiko kano ebikafuula akenjawulo era nkubiriza Bammemba okunoonya buli kisuubizo ekyali kikoleddwa nga Gavumenti yalemererwa okukituukiriza.”