Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 562 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Njakulwanyisa abo bonna abesenza ku ttaka lyamakuumiro g’ebisolo – Pulezidenti Museveni

March 3, 2024 · Mubiru Ali
Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister olunaku olwaleero akiikiridde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku mukolo gwokukuza olunaku lw’ebisolo olwa UN World Wildlife Day ogubadde ku ssomero lya Kagorogoro Primary School mu Disitulikiti y’e Kyenjojo.
Mu mubaka bwa Pulezidenti bwasomye, ategeezezza nti okukuza olunaku luno mukisa gwamaanyi okukuuma obutonde obuli mu nsi eno obwenjawulo era Pulezidenti nasuubiza okuteeka ssente mu byobulambuzi wamu n’okulaba nti amalawo ebyo byonna ebinyigiriza ebitonde ebyomunsiko omuli okubiyigga, wamu nabo abasenze ku ttaka lyamakuumiro g’ebisolo bino.