Breaking
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 282 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

‘njagala pulezidenti asasule oluyimba lwange lweyatwala’ – kaweesa

March 12, 2019 · Mubiru Ali

Omuyimbi Richard Kaweesa atutte omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni mu kkooti etawulula enkayaana z’ebyenfuna kubigambibwa nti yatwala oluyimba lwe olwa “Another Rap” Mpenkoni lweyakozesa mukunoonya akalulu k’obwa Pulezidenti mu 2010 ate n’oluvannyuma naluwandiisa nga olulwe.
Kaweesa awawabidde Pulezidenti Museveni wamu n’ekitongole ekivunaanyizibwa kukuwandiisa obwannanyini bwebiyiiye wamu n’ebintu ebirala ekya Uganda Registration Services Bureau olwokulemererwa okutuukiriza obukwakulizo nga obulina okuyitwamu okuwandiisa ekiyiiye kyonna wamu n’okuwandiisa oluyimba lwe mu bukyaamu wamu n’okuwa Pulezidenti obuyinza obwenkomeredde ku luyimba luno songa Kaweesa yeyaluyiiya wamu n’okulukwata wabula nateekamu ebigambo ebyayogerwa omukulembeze w’eggwanga nga 9-OCt-2010 mu State House nga byali mu Lunyankole.
Ono ayagala aliyirirwe obuwumbi butaano.