Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Nina abaana babiri bokka – Eddy Kenzo

Eddy Kenzo avuddeyo ku mukutu gwe ogwa Facebook; “Ndabye Abantu gabasaasanya ebifaananyi bino ku social media nga babigasse. Simanyi kyemugezaako kutegeeza!
Brighton mutabani wa muganda wange Big Eye StarBoss ne mwanyinaze Nalongo Sheila Don Zella abantu bano baganda bange ddala saagala muntabule nabo. Kuba tumanyaganye okumala ebbanga ddene.
 
Nze nina abaana bangi bendabirira era nga mbayita baana bange era mbagala nnyo. Wabula nina abaana babiri bokka benzaala. Maya Musuuza ne Amaal Musuuza, Mukama bwaliba ampadde omwana omulala ndiba mbategeeza Bantu bange era nga bwenababuulira Maya ne Amaal, sisobola kukweka baana bange kubanga ekya muganda wange omugenzi Paul kafeero kyatuwadde eky’okuyiga.
Nva mu famire y’abantu 5;
Mukulu wange Mande Hassan Male, muwala wa Mande Namande Sheilat Nambooze, muto wange Kisaakye Benita Kiwalabye, ne bawala bange Maya Mirembe Musuuza ne Aamal Malaika Musuuza ne Edrisah Musuuza Nkonge Kiwalabye.
Tuli 5 okuva ku ludda lwa Taata wange kati nga mugenzi Hassan Kiwalabye Kirabira eyebase e Bwala Masaka mu Buddu tetulinaayo waluganda lwe mulala gwetumanyi yatugamba bafiira mu lutalo nasigalawo yekka era nayingira amaggye, yali musirikale wabula yatugamba tusibuka Ssenyange, Masaka Buddu.
 
Ku ludda lwa Maama nali manyi Maama wange ne Taata we. Baava Rwanda mu biseera by’ekittabantu nebaddukira e Masaka era bonna baafa era beebase Kyotera, Buddu eyo nayo nekoma awo.
 
Maama wange yaleka Abaana 4 naye yazaala 5 omu naafa bali bamuyita Nambooze. Abalenzi 3 n’abawala 2 omuwala eyasigalawo yabula bwenali nkyali ku luguudo tetumanyi bamutwala twagezaako okumunoonya naye nga tetuyina wetutandikira yabula tuli bato nyo nga era naye muto myaka nga 4. Bali bamuyita Basi Namugumya. Omulenzi ye manyi waali wano mu Kampala Bamuyita Kavuma era yakula ne Taata we. Jukira Benita mwana wa step mum era mwagala nnyo. Ono ali Canada gyasomera. Story yange eya famire yeeyo.
 
Eky’okubanga Maama wa Brighton yasalawo amubbulemu erinnya Musuuza tekirina buzibu wadde. Siraba lwaki mukifudde ensonga endala.
 
Nange nze Mandera mwenyumirizaamu nga Mukulu wange. Nabwekityo Shira bwaba erinnya Musuuza limunyumira lwaki nedda. Tuli omu, Brighton mukwano ggwange nnyo era ampita Uncle Eddy. Mukama akusuuse mangu. 🙏🏿🙏🏿

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort