Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 712 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

new formation ekya muntu kifunye erinnya

December 13, 2018 · Mubiru Ali

Akakiiko k’ebyokulonda ke kalindiriddwa okuwa Maj. Gen. Muntu satifikeetiekakasa ekibiina kino nti kiri mu mateeka ng’ebibiina byobufuzi ebirala era kyaddembe okulonda abakulembeze n’okuggulawo amatabi mu Uganda yonna ngakigoberera amateeka agafuga ebibiina byobufuzi. NationalAlliance Party (NAP), moto yaakyo egamba nti ‘Country before Self ’ (ekivunulwanti, ‘eggwanga lye lisooka’, wabula langi z’ekibiina kino, akabonero n’ekitebeky’ekibiina bikyakuumibwa nga bya kyama. Maj.Gen Muntu eyali Pulezidenti wa FDC wakati wa November 22, 2012 ne November 242017, yalangirira nga September 25, 2018 nti avudde mu FDC n’asuubizaokutongoza ekibiina ky’ebyobufuzi ekipya nga Ssekukkulu tennatuuka.

Ensonda mu kibiina ekipya zaategeezezza nti enteekateeka zonna ziwedde era okuggyako nga wanaabawo ekinaakyukamu, ekibiina kya National Alliance Party (NAP) kisuubirwa okutongozebwa ku Lwokutaano lwa wiiki ejja December 21, 2018 terunnayita.

Bwe yatuukiriddwa, Muntu yategeezezza nti akakiiko k’ebyokulonda ke balinda okukakasa ebiwandiiko by’ekibiina kyabwe kubanga empapula ne kalonda yenna eyeetaagisa mu kutandika n’okuwandiisa ekibiina ky’ebyobufuzi baabimaliriza dda. “ Ssiyinza kwogera bisingako awo okutuusa ng’akakiiko k’ebyokulonda kakasizza ebiwandiiko byaffe”, Maj. Gen. Muntu bwe yategeezezza omusasi ono.