Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 187 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

NEMA eyise Munnamaggye Musajjawaza abitebye

August 6, 2023 · Mubiru Ali

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi mu Ggwanga ekya National Environment Management Authority (NEMA) Uganda kivuddeyo nekitegeeza nga bwekiyise omusirikale w’eggye lya UPDF Brigadier, Mussajjawaza agende abitebye oluvannyuma lwabakwasisa amateeka mu NEMA okutegeezebwa abakuumi bebasanze mu zzooni y’e Makenke, Gayaza Ward, Kasangati TC, mu Disitulikiti y’e Wakiso nti ye nnanyini ttaka eriweza yiika emu n’ekitundu ekyettaka eriri mu lutobazi eriyiiriddwamu ettaka.