Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Neeyimbira byange asannyalazza Kavumba 2016

Empaka z’akamalirizo ezitegekebwa Radio Simba eza Neeyimbira byange zisombodde namunkukumbo wa bantu okweyiwa e Kavumba eyatuumibwa Las Vegas we Yuganda Kooka Kooka city.

Empaka zaatanadikidde Nansana ku Solar Solutions awaabadde okusunsulamu ku bayimbi ba Neeyimbira byange 24 ani yeesogga Kavumba era bonna nebasobola okuruukiriza ebisaanyizo nebasomoka nga buli muyimbi atuuka atwala ttiimu ye ku kisaawe mu kitundu kya Neesambira byange.

Akalimi olwakoonye mu ssaawa kkumi nabbiri Omuloodi wa Neeyimbira byange okuva e USA Eng. Ronald Lwasa naaziggulawo mu butongole era wezaaggweredde ku ssaawa kkumi ez’ekiro nga ku baana 24, Katikansonzi okuva e Bigasa Bukomansimbi akubye banne naalya obwa Pulezidenti ate naddilirwa omwana omuwala Sweet Bata.

Pulezidenti awangula ekyuma ekikuba ku mikolo ate Vice Pulezidenti atwala Pikipiki kapyata okuva mu Scandi Trading.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort