Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 179 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

NEC eronze Hon. Zaake okusirikira Hon. Mpuuga

March 15, 2024 · Mubiru Ali

Akola nga Pulezidenti wa National Unity Platform Dr. Lina Zedriga Waru avuddeyo nafulumya ekiwandiiko oluvannyuma lwa NEC okutuula ku nsonga zeyali LOP Hon. Mathias Mpuuga Nsamba ku bigambibwa nti yenyigira mu bikolwa byokulya enguzi wamu n’okukozesa obubi offiisi ye ngali wamu ne Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM abali ku Parliamentary Commissioners mwebegabirira akawumbi 1 mu obukadde 700 mu lukiiko olwali lukubirizibwa Sipiika Anitah Among.
Olukiiko lugamba nti yadde yayanukudde kyebamusaba naye kyeyazeemu teyanyonyodde kimatiza lwaki yenyigira mu kikolwa ekibi ennyo bwekityo. Okwanukula kwe tekwayanukudde kimunenyezebwa.
NEC esazeewo okuggyayo ku kifo kya Parliamentary Commissioner era nebasemba MP Zaake Francis Butebi.