Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 392 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Naye Gavumenti Wakiso yabakola ki? – Matiya Bwanika

May 22, 2019 · Mubiru Ali

Ssentebbe wa Disitulikiti y’e Wakiso, Matiya Lwanga Bwanika agugumbudde Gavumenti olw’okutondawo ebibuga ebirala kyokka Wakiso yo nerekebwa emabega. Bwanika bino abyogeredde ku Kabaga akategekeddwa Disitulikiti y’e Wakiso okusiibulula Abasiraamu nga kategekeddwa ku kitebe kya Disitulikiti eno. Ono era asabye Abayisiramu okusabira ennyo eggwanga lino naddala mu kisiibo kino ebikolwa ebitali byabwenkanya bigweewo. Ate ye Director wa Daawa mu Uganda era nga yabadde omugenyi omukulu ku kabaga kano, Sheikh Nuuhu Muzaata Batte asabye Bannayuganda okukomya okwesosola olw’amadiini era nalaga obwenyamivu olwa Bayisiramu obutafibwako bulungi mu ngabanya y’omugaati gwe Ggwanga.