Breaking
News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj. News: Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority URA kyavuddeyo nekyanika omukozi wakyo, Sozzi Geoffrey News: Minisitule yebyentambula ngeri wamu ne Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka batandise okukebera emotoka ennene okukakasa nti zisaanidde
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 354 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

NAYE BANTU MMWE NGA TUBAKOLEDDE NNYO!

July 28, 2021 · Mubiru Ali
Minisita w’Ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero avuddeyo navumirira ekyabantu abasazzeewo okukozesa kkeesi z’abafu okutiisatiisa omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Ministry of Health- Uganda Dr. Diana Atwine, nagamba nti kino kijja kumulamu abasawo amaanyi.
Dr. Aceng agamba nti emirundi mingi Dr. Atwine afulumizza ensaasaanya y’ensimbi bagiraga nga kati yebuuza abekalakkaasa kiki ddala kyebaagala.
Dr. Aceng agamba nti yewuunya abantu okuba nga kino kyebalabye okubasasula olwokukola kyonna ekisoboka okulwanyisa okusaasanya kw’ekirwadde kya COVID-19. Nayongerako nti bwemuba mwagala embalirira mugisabe okusinga okukola ebikolwa nga ebyo.
Ye Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigire agamba nti Poliisi yafunye okutemezebwako era abantu bakutandika okubakwata kuba babamanyi era baagala babuulire ekigendererwa kyabwe.