Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina? News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 512 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Nasinsi w’abantu yeeyiye e Namugongo okusiibula Dr. Nkoyooyo

January 9, 2018 · Mubiru Ali

Nasinsi w'omuntu yeeyiye e Namugongo  – Nakiyanja ku kiggwa ky'abajulizi abakulisitaayo okusabira, okusiibula era okuziika eyali Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Yuganda, Dr. Livingstone Mpalanyi Nkoyooyo.

Okusaba kukulembeddwamu Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Yuganda, Rt. Rev. Stanely Ntagali era y'omu abadde akulemberamu okusabira omugenzi ku All Saints Cathedral , ku St. Paul's Cathedral, Namirembe ne ku St. Andrews and Phillips Cathedral e Mukono.

Ab'ebitiibwa njolo abeetabye ku mbaga ya Dr. Nkoyooyo ey'oluvannyuma omuli; Edward Ssekandi  omumyuka wa Pulezidenti, Jajja w'obuyisiraamu, Omulangira  Kassim Nakibinge, Ssaabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda,  Supreme Mufti Suleiman Kasule Ndirangwa, Mufti Ramadan Mubajje, Dr. Kizza Besigye,  Maama Nnaabagereka  Sylvia Nagginda ,  Katikiro Charles Peter Mayiga n'abalala njolo.