BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Nasazeewo obutesimbawo nga sikakiddwa – Minisita Kiwanda

Omubaka wa Mityana North era nga y’e Mumyuuka wa Ssentebe owa National Resistance Movement Buganda Region Godfrey Kiwanda avuddeyo kukyobutesimbawo; “Okusalawo obutesimbawo ku kifo ky’omubaka wa Mityana North nakirowoozezaako bulungi era nakikoze lwa kigendererwa kirungi.

Mu 2015 nagezaako okwesimba ku kifo ky’omumyuuka wa Ssentebe wabula nensabibwa ndekera Al Hajji Abdul Nadduli.

Ekiruubirirwa kyange kyali kyakuwummula ng’Omubaka, bwesakituukako nensalawo nzire e Mityana North.

Ku mulundi guno nakola kyekimu nenkima empapula z’Omubaka wamu ne C.E.C wabula ku luno tekyabadde nga bwekyali mu 2015,  Al Haji Nadduli yasabibwa ave mu lwokaano.

Oluvannyuma lw’okutuukiriza ekirooto kyange ng’Omukulembeze wa Buganda, nensalawo obutaddayo mu magombolola 3 agakola Mityana North.

Endowooza yange eyebyobufuzi tegenda kuddamu kutunuulira kulaakulanya Mityana North yokka wabula Buganda yonna.

Okuvaamu kwange kwatuukiddwako oluvannyuma lw’enzikiriziganya n’obukulembeze obwawaggulu.

Neebaza abantu ba Mityana North olw’okundera nentuuka ku kifo kya Buganda. Nabwekityo aba ttiimu Kisoboka mubeere bagumu ebirungi biri mu maaso.

Tuweereza Katonda asobola.

*Kiwanda Godfrey Ssuubi*

*Vice NRM Central Region*

*2020-2025*”

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply