Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 407 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

NARO etaddemu ggiya ku butonde bwensi

March 23, 2017 · Mubiru Ali

Aba National Agricultural Research Organization-NARO, bawadde abatuuze b’omukibuga Kira endokwa z’emiti gy’ebibara emitwalo 50 okugisimba, bagirabirire okugikozesa okukuuma obutonde bwensi ate n’okulwanyisa obwavu.

Mu miti gino omubadde emiyembe egyembala awamu ne woovakedo ataggwako buli kadde, NARO, egendereddemu buli mutuuze mu kitundu kino abeeko ne kyakola okuzzaawo obutonde bwensi nti nga tebaagala bawoze nga  bbo bwebatalina webasobola kusimba miti olwobutono bw’ettaka.

Bwabadde akwasibwa emiti gino, omumyuka wa Mayor w’ ekibuga kino, Godfrey Nsubuga, agambye nti kino aba NARO kyebakoze kwekusomooza okunene ennyo eri enkulaakulana y’abantu nga ate sibatuuze wabula ng’abakulembeze b’ekibuga kubanga bbo baagala kulaba nga buli mu  maka mulimu omuti.

Wabula asabye buli anaagufuna eyongereyo waakiri emirala esatu nga buli nsonda ya puloti waliwo omuti okwongera okugumya obutonde bwensi.