Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 170 listening Simba FM Live

Nannyini ttaka akubaganye n’abasenze e Mukono

May 29, 2020 · Mubiru Ali

Abatuuze ku kyalo Banda Kyandaaza mu Ggombolola y’e Nakisunga mu Disitulikiti y’e Mukono bakedde kwelolera katemba atali musasulire ku kibanja ky’omugenzi Kato Mathias nga nannyini ttaka nga agugulana ne famire y’omugenzi nga bakulembeddwamu Muwanguzi Alex ono nga mutabani w’omugezi.
Muwanguzi agamba nti kibaweddeko bwebakedde ku nkya nebasanga nga Kansala ku Lukiiko lw’e Ggombolola y’e Nakisunga Ndagire Barbra asibye ssengenge ku kibanja kyabwe kwekusalawo bakuule ebikondo byonna.
Olutalo lutandise nga abaana b’omugenzi banenya Ndagire okubagaana okwegula so nga obusobozi babulina era wano enkalu wezitandikidde okunoonya obukonguvule.